Jeremiah 20:7-8

Okwemulugunya kwa Yeremiya

7Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
buli muntu ankudaalira.
8 aBuli lwe njogera,
ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
Copyright information for LugEEEE